1.OKUZAALA KWA KAKOTO
2.OKUZAALA KWA GGUNGA
Ggunga ye mwana wa Njiwe owookubiri (2) era yazaala abaana kkumi na mwenda (19) abalenzi kkumi na musanvu (17) ate abawala babiri (2).
Abawala;
3.OKUZAALA KWA LUWALI OMWANA WA NJIWE OWOOKUSATU
Luwali ye mwana wa Njiwe atamanyiddwaako baana beyazaala n’abaamuddirira okutuusa ku mulembe gwa Ssekabaka Jjunju abamanyiddwako bali babiri (2) omulenzi n’omuwala;
Era kati abo baafuuka Masiga. Naye olw’okubanga Luwali yali omu ku baali bazzeeyo e Ttende nga gy’abeera n’abaana be n’abazzukulu abasing battibwa abalala abaawonawo bawaηηangukira ewala kubanga buli eyasangibwa e Ttende n’amala awona yaddukira wala oba okwekweka mu bika ebirala.
Wabula azaala Kiyimba Mayega ne Mugonjo Kiruuta n’omuwala gwaali muto ye Zziwa Nangoma era Nangoma oyo ye yava e Ttende tekimanyiddwa oba ye yali Luwali yennyini oba mulala.Bweyatambula yaggukira Bwema.
4.OKUZAALA KWA SSEKITUBA OMWANA WA NJIWE OWOOKUNA
Ssekituba yazaala abaana 12
5.OKUZAALA KWA KABENGE OMWANA WA NJIWE OWOKUTAANO
6.OKUZAALA KWA GGULU OMWANA WA NJIWE OW’OMUKAAGA
Ggulu bweyali akyaali e Ttende yazaalirayo omwana.
Okuzaala Kwa Ssemmanda
Ssemmanda y’azaala omwana ayitibwa Kitumba ku Mukono.
Okuzaala Kwa Kitumba Muzzukulu Wa Ggulu
Kitumba yazaala abaana babiri (2)
Abaana ba Kitumba bombi baafuna amasiga nga kitaabwe.
Era eyo y’ensonga eyagambisa nti Kitumba alina amasiga ge ekyava mwekyo kwekugayita aga Kyeyune ekyaleeta ensobi ennene.
Okuzaala Kwa Makanga
Okuzaala Kwa Mmombwe Omwana Wa Kitumba Mmombwe Yazaala Abaana 3
7.OKUZAALA KWA LUBUMBU OMWANA WA NJIWE OWOOMUSANVU (7)
Lubumbu yazaala Bbe ku mutala Ttende okuzaala kwa Bbe omwana wa Lubumbu.
Bbe yazaala Lwabisenge ku mutala Ttende.
Okuzaala Kwa Lwasisenge Omwana Wa Bbe
Lwabisenge yazaala Wassanyi ku mutala Ttende.
Okuzaala Kwa Wassanyi Ku Mutala Kigungu
Wassanyi yasenga ku mutala Kigungu n’azaalirako omwana Ssebwato.Ku mutala Kigungu eyo gye yava n’agendako e Kyaggwe n’abeerayoko oluvannyuma n’akomawo. Y’afuna erinnya erya Muyanja olw’okubeeranga ennyo ku Nnyanja nga ayanjizayanjiza okwo kwe kugamba nga muntu wa kubeera ku Nnyanja ekiseera kyonna era ye yavaamu Essiga lya Muyanja erinnya eryava mu kubeeranga ennyo ku nnyanja.
Okuzaala Kwa Kisove Muyanja Omwana Wa Ssebwaato
Muyanja yazaala abaana 12
8.OKUZAAL KWA SSERUBBO OMWANA WA NJIWE OW’OMUNAANA (8) SSERUBBO YAZAALA ABAANA BABIRI (2)
Kassukussuku yazaala abaana musanvu (7) ku mutala Bunono.
9.OKUZAALA KWA NVUBWA OMWANA WA NJIWE OW’OMWENDA
Nvubwa yazaala abaana;
Okuzaala Kwa Kigoonya
Kigoonya yazaala abaana basatu (3)
10.OKUZAALA KWA KIWE OMWANA WA NJIWE OW’EKKUMI (10)
Kiwe yazaala abaana Majwajwa, Majwajwa n’azaala a baana;
Nawandugu yasimbirwa olusuku n’afuuka ow’essiga ate ye Kabengwa omutaka Kakoto yamukwasa Kintu yagituuma erinnya erya Kanywomu – ekitegeeza nti enywebwako omuntu omu Kabaka Kintu yekka era yamusimbira omutuba e Ssekanyonyi eyo Kabaka kye kyalo kye yamuwa okulundirako ente ye era wa Mutuba mu Ssiga lya Nawandugu.
Okuzaala Kwa Nawandugu
Nawandugu yazaala;
Nawandugu alina amasiga 12 nga ery’ekkumi ne bbiri (12) ye Kabengwa
11.OKUZAALA KWA NANZUUKA OMWANA WA NJIWE OW’EKKUMI N’OMU (11)
Nanzuuka ye mwana wa Njiwe ow’ekkumi n’omu (11) Nanzuuka yazaala abaana abawerako naye kubanga ye omu kubaatambula ennyo nga e Buluuli ne Buddu kati abaana be bangi baasigala eyo ne mu bitundu ebirala bingi nayae abaana abamanyiddwako kati bali babiri (2).
Kimwa ye wuuyo eyagenda ne Kintu nga omusawo we olw’okubanga omulimu gw’abennyonyi omukulu okuva edda gwali gwa busawo, ne Kintu bwe yalinga aliko ky’ayagala okumanya nga amala kubuuza Kimwa. Era Kintu bweyali akomawo Kimwa yakola omulimu gwe gumu kubanga Kintu ekkubo lye yakwata ng’agenda ate si yeyaddiramu anti mukugenda yayitira mu bitundu kati awayitibwa Kenya ssonga mu kudda yayitirako mu Kenya n’aggukira ku Lusozi Masaaba. Yalaga ekkubo eryabakomyawo obulungi ennyo omulimu n’abeera nga agukoze bulungi nnyo n’atuukiriza omulimu gwa bajjajjaabe ogw’obusawo olwo kwekumuyitanga Kajjakawonga mu lulimi lw’ekiseera ekyo kyavaamu Kajjanabwangwa ekitegeeza nti yajja abawongera olugendo lwabwe.
Okuzaala Kwa Kimwa
Gano ge Masiga agali mu Namuηηoona era abaana Kimwa be yazaala;
12.OKUZAALA KWA MULINDWA OMWANA WA NJIWE OW’EKKUMI N’ABABIRI
Mulindwa yazaala abaana bangi ddala naye abasing yabalekayo e Bunyoro ne batakomawo eno naye abaakomawo e Buganda bali babiri;
Mulindwa yagenda n’omulangira Kalemeera e Bunyoro era Mulindwa mu baana ba Njiwe ye yasinga okuwangaala, ate n’engeri gyeyali nga y’atumwa guno na guli n’okukolanga ku bagenyi, yatambula nnyo ebitundu ebyetoolodde Buganda era ye yambisibwanga nnyo bwe waabangawo ensonga ekwata ku bitundu ebyo.
Bwe kyatuuka ku Mulangira Kalemeera, abataka batuula ne banoonya anaawerekera ku Mulangira okulaba nga agenda aleete ebintu ebinaamaliriza olufubanja lw’omusango, n’omulangira aggweemu n’ekyejo.Mulindwa gwebalonda awerekere ku Mulangira.Mulindwa bweyatuuka eyo, yazaalirayo abaana abo.
Wabula Kyeyune bwe yali nga asaba okweyawula yamuyita wuwe.
Abaana abo yabazalira mu bitundu by’e Bunyoro olw’ensonga Omulangira Kalemeera nga bwenkyogeddeko.
Abo bonna basangibwa Buddu naye ku mulembe gwa Ssekabaka Jjunju nga awangudde ekitundu ekyo nebazuuka.
Okwo kwe kuzaala kw’abaana ba Njiwe Kiwu – Kyeru. Era mu baana abo n’abalala abaazaalibwanga ne basigala mu bitundu oba ne bebawaηηanguka okuva wano e Buganda, buli ayitibwa wa Nnyonyi mpozzi na bali abaagenda ku nsonga ze nnayogeddeko emabega. Bw’ogatta bonna eyo ye Nnyonyi eri wano n’eyasaasaana ebbali yonna.
Nga sinnagenda ku nsonga ndala, njagala eby’abaana mbikomekkereze n’ebbaluwa eno Omutaka Mbaziira gyeyawandiikira Katikkiro wa Buganda mu mwaka gwa 1964 eraga nti Omutaka Mbaziira takkirizangako nti ye wa Nnyange era tagenda kukkiriza. Ye atwala Ennyonyi zonna era y’azikulembera kubanga bonna baana be.