MUYANJA ALIKO ASAPH BASUMISE SEBUNNYA-LULE

Muyanja ASAPH BASUMISE SEBUNNYA LULE era nga kati y’atwala eb’emituba bonna mu Ssiga lya Muyanja mu kika ky’eNnyonyi, era nga yakakasibwa ekika n’omutaka Mbaziira nga 20.2.1987. Oluvanyuma lw’okwetegereza  nga aviira ddala mu lubu olulya obwa MUYANJA, mu Mutuba gwa Ssempewo ogumu ku Mituba esatu egivaamu Muyanja, era nga muzzukulu wa ba Muyanja abasooka.

Mutabani  wa Nguli  Epafula Dito  Kyeyune  Mbabaali  Lule Munnonye

Eyeebase  eKiteezi ,  Lusanja  Zone  LC1, Kiteezi, Gomb. Ssaabawaali  Kyaddondo, era

Mutabani wa Zefaniya  Kabindula  Musoke agalamidde e Wabiregeya  Muwanga Ggombolola  Mut.III

Kiteesa , Ssingo

Era wa Erisa  Zziwa  Zaake  eNnaama  Ggombolola Mumyuka Busimbi , Ssingo

Muzzukulu wa Shadrak  Kiwanuka  Muyanja  Aligaweesa  agalamidde, eKakunyu Ggomb.  Mut. III  Bukomero  – Kiteesa, Ssingo

Muzzukulu wa Ssaalongo Mbabaali Ngabo

Muzzukulu wa    Ssenkuyombereko  –  Kajjansi, Busiro

Muzzukulu wa  Kawuuzi    Zaali ebbikke, , Mukaka Bussi

Olukolo lwe:

Ava    mu Nnyumba  ya  Kyeyune  Mbabaali Munoonye e Kiteezi Kyaddondo

Ava        mu  Luggya lwa:-  Aligaweesa

Olunyiriri  lwa  Luntu  e Mukaka, Bussi

Omutuba –  Ssempewo – Mukaka Bussi

Essiga  lya Muyanja  e Mukaka  Bussi, Busiro

Ekika: NNYONYI TTENDE/BULAMA BUSIRO