OBUVUNANYIZIBWA BWA MUYANJA MU BUGANDA NE MU KIKA KY’ENNYONYI

Njiwe Kiwukyeru bweyali akyali mu matwale ge eTtende, Bulama, abaana be bonna yabagabira emirimu emitongole egyafuuka egy’ensikirano mu kika ky’eNnyonyi.

(i)  Omwna we Lubumbu eyabbulukukira mu Muyanja Kisove yakwasibwa mulimu gwa kukulira Mpingu y’amaato ga Kitaawe ku Nnyanja, okubajja Amaato, n’okukulira ab’ alunnyanja.

Kiwanuuzibwa nti ku mulimu gwe guno n’obumanyirivu bweyafuna ku nnyanja kwekwava

okukazibwako erinnya “Omuyanja” oluvannyuma omwava erinnya  Muyanja.

(ii) Okufaananako baganda be Abamasiga mu kika, Muyanja ye mukulembeze w’eSsiga lya Muyanja owo ku ntikko ngali wansi w’obukulembeze bw’Omutaka Kakoto Mbaziira, Omukulu w’Akasolya k’eKika ky’eNnyonyi era wansi w’obukulembeze bwa Ssaabataka era Kabaka wa Buganda.         

(iii) Y’akulembera n’okukumaakuma abaana be ne bazzukulu be n’okukuuma enkalala z’abaana be ab’Emituba.  Yemukwanaganya w’enkalala z’abazzukulu be, ab’ennyiriri, ab’empya n’abennyumba mu Ssiga lye.

(iv) Ye Nnyungiro y’abaana ne bazzukulu be abasibuka mu Ssiga lya Muyanja mu kika ky’eNnyonyi – bwatyo ye yeebuzibwako ku nsonga zonna ezikwata ku buwangwa, ennono n’empisa n’obukulembeze mu ssiga.

(v) Akalogana butereevu n’Ababaka b’Omutaka Mbaziira ab’emitendera egitali gimu mu masaza, magombolola n’emiruka mu Buganda mwonna.

(vi)  Y’avunaanyizibwa ku nkolagana y’essiga lye wamu ne baganda be ab’amasiga amalala mu kika ky’eNnyonyi.

(vii) Y’atuukirwako ensonga zonna eziva ku Kasolya k’ekika ky’eNnyonyi e Bulimu ku lw’essiga erya Muyanja.

(X) Okufaananako ne bataka banne Abamasiga mu bika bya Buganda, ebirala, Ow’essiga Muyannja y’entabiro        y’enkolagana n’ebika ebirala ku nsonga ezija ku ssiga lye.