Ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa l ekika ky’eNnyoyi kyasiiga Kibibi muzzukulu wa Muyanja
okuva mu mutuba gwa Ssempewo ku bwa Musolooza ng’adda mu bigere bya Musolooza Misoga okuva mu Ssiga lya Kitumba.
NB: Ono yeeyali atadde ekisolooza e Nanziri
Ssekabaka Mwanga II yeyagoba Misoga oluvannyuma lw’okumusobya .
Musolooza Kibibi yeyasengula eKisolooza okudda eKawanda nga akiggya eNanziri mu Mawokota, n’akizza eKawanda mu Kyaddondo.
Musolooza Kibibi bweyazaama ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga ll, Omutaka Mbaziira n’asiigira Kabaka Mwanga ll muzzukulu we Kiggwe, okuva mu Ssiga lya Muyanja.
Musolooza Kiggwe yattirwa mu lutalo eKabula ku mulembe gwa Ssekabaka Kiwewa.
Mu butabanguko bw’entalo mu Buganda ne Musolooza Kiggwe mweyali afiridde, Ssemanda muzzukulu wa Muyanja okuva mu mutuba gwa Ssemuko yawamba obwa Musolooza okutuusa Lweyazaama. Ono Mbaziira siyeyamusiigira Kabaka – Yalya Nsowole.
Musolooza Ssemanda bweyazaama ate Muguluma era muzzukulu wa Muyanja naye neyeewaŋŋamya ku bwa Musolooza. Ono naye Mbaziira siyeyamusiigira Kabaka. Naye yalya Nsowole
Oluvannyuma nga obujagalalo bukkakkanye nga ne Kabaka Mwanga azze ku Bwakabaka omulundi ogw’okubiri, Mbaziira nate yasiiga muzzukulu we Yonasani Kagodo ku bwa Musolooza.
Ssekabaka Ssuuna ll yalonda Mbabaali Muzzuku wa Muyanja okubeera Ow’essaza Kayima eMawokota. Mbabaali yali asibuka mu Lunyiriri lwa Namunnungu eKalagala Bulemeezi era muzzukulu wa Sempewo e Mukaka.
Ssekabaka Muteesa l yagaba Majwala Ssemanda muzzukulu wa Muyanja okukulembera olutabaalo lw’eBusongola. Ono yeyamanyibwa nga Omugabe Mujumbula Muwemba yali mutabani wa Mbabaali eyali Owessaza Kayima owa Ssekabaka Ssuuna ll yali ava mu Lunyiriri lwa Nnamunnungu mu Mutuba gwa Sempewo e Mukaka.