OBUGUGUMUKO OBUZE BUBAAWO MU KIA KY’ENNYONYI

EMBAGA YA NJIWE NANDEKERERWA

Akatabanguko sinziggu mu kika ky’eNnyonyi akasooka kaaliwo mu mirembe gya Njiwe Kiwukyeru nga kaava ku kinyumu ye kennyini kyeyeetegekera era kimale kiveeko  akabaate kakasaasaano akogerwako.

Awo olwatuuka Njiwe bweyali ku lusozi lwe Ttende, n’azimba enju empya gyeyatuuma Kkonkomibbi. Ennyumba eno yali agizimbye nga kijjukizo kya Kaddulubaale we eyali azaamye. Ennyumba bweyaggwa, Njiwe n’ateekateeka embaga makeke ey’okugiyingira.  Bwatyo yayita abaana be n’ebazzzukulu be bonna wamu n’ebataka banne ne mikwanogye.  Ku lunaku olwakulembera embaga, abamu ku batabani be abaali basoose okutuuka kwebaatandikira okutta ebisolo by’okulya ku mbaga.  Bwebatta embuzi n’ebalembeka omusaayi gw’okufumba kafecce mu ntiba ezinywerwamu omwenge. Bwebaamala okuggya omusaanyi mu ntiba ne bazooza enkeera naye nezitatukula bulungi. Olw’okuba abaana abasooka okutuuka baali bakwatirwa obuggya n’empiiga baana bannaabwe abatuuka ekikeereezi bali abasooka okutuuka baanaabwe abajja oluvannyuma mu ntiba ezirimu omusaayi mwebabaweera omwenge.  Abo abaaweebwa omwenge bwebaaalaba omusaayi mu ntiba ate nga zaali ziwunya ekivundu ky’omusaayi, ne banyigira nnyo bannaabwe  okubaweera omwenge mu ntiba ezijonjobadde omusaayi era ezicuuma.  Abaweebwa omwenge baaguzira era ekyaddirira kwali kudwadwalikana okwaddirirwa akanyoolagana k’okulwanagana, olwo abaanyiizibwa nebayabulira embaga ya kitaabwe.

Njiwe bweyatuusibwako amawulire gano era n’ajja alabe ogubadde.

Abaana bakanaaluzala bategeeza Kitaabwe  ebyali bibaddewo.  Njiwe bweyabiwulira naye n’anyiigira nnyo abaana abaweera bannaabwe omwenge mu ntiba ezirimu omusaayi.  Njiwe naye teyalonzalonza  abaana abaasobya  bannaabwe naye n’abagoba ku mbanga.

Bataka banne ne banywanyi be nabo bwebaalaba nga nnyinimu akalalidde abaana be, nabo n’ebaabulira embaga nga ebyassava n’omwenge ebyali bitegekeddwa olw’embaga byonna byasigala ttayo.  Akannyamberege akaagwa ku mbaga ya Njiwe Abaganda abedda kwebaava bagituume “Nnandekererwa ng’embaga ya Njiwe!!”

Akasaasaano kano kali sinziggu era kaviirako bangi ku baana n’abazzukulu ba Njiwe okunyiiga olugenderezo  ne basenguka ku butaka bwabwe n’okubuna emiwabo nga basenga mu bitundu bya Buganda ebitali bimu.

OKINSOMBEDDE

Akasaasaano ak’okubiri era akaayongera okutabangula  n’okusaasaanya Abennyonyi, kaaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro.  Ku olwo ate akabaate kajja bwekati :

Ku mulembe gwe, Ssekabaka Ssemakookiro yakuba ekibuga ku lusozi Kitende okumpi ne Kajjansi mu Busiro. Bo Abennyonyi (Abalama) bali ku lusozi lwabwe Ttende mu Bulama.  Olwali olwo ennyoyi eyitibwa Kimbagaya n’eva etaamanyibwa n’egwa ku kitikkiro kya Twekobe ya Kabaka Ssemakookiro.  Abantu bwebaagiraba nebawanuuliza Kabaka nti ennyonyi yali yabulabe nti era yali tasaanye kuddayo kusula mu nju kweyagwa.  Kabaka tatta, basaakiriza be batta. Kabaka bweyeebuuza ennyonyi gyeyali evudde n’ekyali kigireese okugwa ku nju ye, abantu beebamu ne bamuloopera n’okumuwanuuliza nti ennyonyi yali evudde Bulama mu Bennyonyi. Enseekeezi ezaali zakwatirwa edda Mbaziira ennugu olw’ekifo kye eky’okumwajo okubeera omusawo wa Kabaka Omukulu, bakonjera Mbaziira ewa Kabaka nti kirabika Mbaziira yeyali asindise ennyonyi eyo nga ayagaliza Kabaka okuggya omukono mu ngabo ye  Mbaziira alinnye ku  Namulondo.

Ebigambno ebyalooperwa Kabaka yabiwuliriza era n’ebimunyiiza nnyo.  Ennyumba Kabaka mweyasula kw’olwo yazimbwa kiggweerawo

Nga Kabaka abuubuuse obusungu,yawa ekiragiro ky’okunyaga Kakoto Mbaziira Malevu n’ Abalama wonna mu Buganda. Mbaziira Malevu yakwatibwa n’assibwa, mu nvuba.  Kabaka yali asiimye Mbaziira attibwe.

Ekiwendo kino kyattattana nnyo ekika ky’eNnyonyi kumpi kukisaanyizaawo ddala mu Bwakabaka bwa Buganda. Anti Kabaka Ssemakookiro yali asiimye akiwere okutuusa Abataka abamu gwebaamuwanuuliza nti gano gaalibadde mawano gennyini.  Kabaka Ssemakookiro okumanya yataama, yali atuumizza Mbaziira ye yennyini y’aba amwettira.  Abataka bawanuliza Kabaka nti olw’omukago Kakoto Mbaziira gweyali yatta edda n’Omulangira Kintu nga bakyali eMangira mu Kyaggwe, Mbaziira yali tasimbwako ffumu.  Kabaka yawuliriza n’okumatira okuwanuuza kuno.

Wabula era okukkakkanna ekiruyi Ssekabaka Ssemakookiro yalagira Mbaziira alonde abaana oba bazzukulu be ab’okulusegere basatu, Kabaka Ssemakookiro abatte mu kifo kya Mbaziira ne ku lw’ekika kye.

Awo baaleeta omuzzukulu wa Mbaziira Misoga okuva mu Ssiga lya Nawandugu ne Njalayebusoga okuva mu ssiga lya Kitumba Nkoligo okuva mu ssiga lya Nnundye ne babakwasa Mbaziira, Kabaka Ssemakokiro n’abasogga amafuumu okwemale ekiruyi.

Kisaana kitegeerekeke bulungi nti luno si lufumo wabula ebyafaayo eby’obuyinike ebyaaliwo ku mulembe Omukookiro!!

Ekibabu kino ekyava ku Kimbagaya okwetulinkiriza okugwa ku Twekobe ya Beene Ssemakookiro kwekwava enjogera y’Abaganda egamba  nti, Okinsombedde, Kimbagaya yakisombera Balama”.