MUYANJA AVA KU BUSSI

Mu mwaka gwa 1895 Kabaka Mwanga bwe yali nga agenda okutabaala, yasula ku Kizinga Bussi abantu baako ne bafumita omu ku  bafumbi be ne bamutta, Mu kiseera ekyo talina kye yakola neye bwe yakomawo e Mmengo, n’alyoka agaba Kauta Lutaaya n’agenda azinda Bussi. Bwekyali bwekityo yatta abantu bangi era abatuuze abalala ne baddukako ku Kizinga. Ekizinga kyonna Kabaka yakiwa Yosiya Kijjambu. Ate mu 1889 Kabaka Mwanga omulundi ogw’okubiri ekizinga yakiwa Yosiya Kasozi Gabunga.

 Ate mu mwaka gwa 1893 Kabaka Mwanga nga ajulula Abapolesitante okubagya mu Buddu, bwatyo yajulula n’aba Ssese abaali ku Kizinga Bugala ne Bunjako n’abawa ku Kizinga Bussi.

Mu mwaka 1900  nga Yosiya Kasozi Gabunga  eyali ku Bussi ebiseera ebyo nga aweereddwa  obwa Kweba –Saza Ssese, yava ku Bussi era n’agenda n’abaami be bonna e Ssese, awo Katikiro Apollo Kaggwa najulula mailo ze zeyali aweereddwa mu Saza Busiro n’azizza ku Bussi, era omwo yaliiramu n’ebifo bya Muyanja, olw’okuba mu kiseera ekyo MUYANJA yali avudde ku Bussi olw’ensonga ezo waggulu mpozi n’ebivu ebyagobayo abantu ne badda ku Lukalu. Okuva mu biseera ebyo ekizinga kyafuuka eky’obwesenzeze ku baami abataka baako abedda. Eno yensonga lwaki mu mwaka gwa 1922 Muyanja n’baami abalala baakulemberamu okuwawaabira ba Regents eri Kabaka nga baagala ebyalo byabwe bibaddizibwe.

Newankubadde nga ebyo byonna byaliwo, tekyalobera Muyanja ASAPH BASUMISE SEBUNNYA LULE okwewaayo n’anunula ettaka lya ba Jjaja be okuli embuga enkulu, Omweso gwa Muyanja, ebiggya by aba Muyanja abasooka wamu n’omwalo awagoba amaato, byonna n’abizza mu butaka bwa Muyanja okutudde ekiggwa leero.