Ow’essiga Muyanja e Mukaka Bussi Busiro mwana ddala w’omutaka Mbaziira era wa Sssiga mu Kika ky’eNnyonyi ekikulemberwa omutaka Mbaziira Kakoto nga obutaka buli Bulimu mu Kyaggwe, ensibuko Ttende Bulama Busiro.
Muyanja ava mu LUBUMBU omwana wa NJIWE-KIWU-KYERU e Ttede Bulama Busiro. NJIWE yazaala abaana kumi-nababiri (12), abamu bapaala ne bagenda olw’e Mbaga ya NJiwe eyogerwaako ne kaakati nti ‘’Nandekeererwa nga embaga ya NJiwe’’ MUYANJA ava mu mwana wa Njiwe ow’omusanvu (7) ayitibwa LUBUMBU.