E MUKAKA BUSSI BUSIRO E MUGUNJO ZZINGA BUSIRO E MUKONO MUZIINA BUSIRO E KALULE E BUKAMALA-ZZINGA BUSIRO E KIGUNGU ENTEBBE E BUBEBBERE BUSIRO E BUKAMALA ZZINGA BUSIRO E KITALA BUSIRO E BUMEJJA BUNJAKKO MAWOKOTA E BUGABO E MUSENYI SSESE
GINO GY’EMITUBA EGIVAAMU ABALYA ESSIGA MU NNONO YA MUYANJA
> OW’OMUTUMBAMUGANGA E BUGABO BUSIRO Oyo mwana wa mutuba mu Ssiga lya MUYANJA e Mukaka Bussi Busiro era obutaka bwe buli Bugabo Bulama Busiro awo weewali olusuku lwe era n’omutuba
> OW’OMUTUBA SSEMUKO E MUGUNJO ZZINGA BUSIRO. Mwana wa Muyanja e Bussi Busiro yasimbirwa olusuku n’omutuba ku mutala Mugunjo ku Kizinga Zzinga mu Ssaza Busiro.
> SSEMPEWO yasimbirwa olusuku n’omutuba e Mukaka Bussi BUSIRO, Omuzzukulu oyo wa Njiwe era asibuka Ttende Bulama Busiro.