Muyanja ASAPH BASUMISE SEBUNNYA LULE era nga kati y’atwala eb’emituba bonna mu Ssiga lya Muyanja mu kika ky’eNnyonyi, era nga yakakasibwa ekika n’omutaka Mbaziira nga 20.2.1987. Oluvanyuma lw’okwetegereza nga aviira ddala mu lubu olulya obwa MUYANJA, mu Mutuba gwa Ssempewo ogumu ku Mituba esatu egivaamu Muyanja, era nga muzzukulu wa ba Muyanja abasooka.
Mutabani wa Nguli Epafula Dito Kyeyune Mbabaali Lule Munnonye
Eyeebase eKiteezi , Lusanja Zone LC1, Kiteezi, Gomb. Ssaabawaali Kyaddondo, era
Mutabani wa Zefaniya Kabindula Musoke agalamidde e Wabiregeya Muwanga Ggombolola Mut.III
Kiteesa , Ssingo
Era wa Erisa Zziwa Zaake eNnaama Ggombolola Mumyuka Busimbi , Ssingo
Muzzukulu wa Shadrak Kiwanuka Muyanja Aligaweesa agalamidde, eKakunyu Ggomb. Mut. III Bukomero – Kiteesa, Ssingo
Muzzukulu wa Ssaalongo Mbabaali Ngabo
Muzzukulu wa Ssenkuyombereko – Kajjansi, Busiro
Muzzukulu wa Kawuuzi Zaali ebbikke, , Mukaka Bussi
Olukolo lwe:
Ava mu Nnyumba ya Kyeyune Mbabaali Munoonye e Kiteezi Kyaddondo